Who we are
Buganda Land Board was established to manage that part of estate returned to the Kabaka of Buganda under the Traditional Rulers Restitution of Assets and Properties Act. CAP 247 Laws of Uganda. A 350sq mile estate together with the other properties returned to the Kabaka was handed over to Buganda Land Board. Buganda Land Board therefore manages this land by way of encouraging residents to regularize their tenancy under the existing land laws of Uganda.
|
|
Who is Buganda Land Board?
Buganda Land Board was established to manage that part of estate returned to the Kabaka of Buganda under the Traditional Rulers Restitution of Assets and Properties Act. CAP 247 Laws of Uganda. A 350sq mile estate together with the other properties returned to the Kabaka was handed over to Buganda Land Board. Buganda Land Board therefore manages this land by way of encouraging residents to regularize their tenancy under the existing land laws of Uganda.
Liizi Kye ki?
Liizi kitegeeza okweyazika ettaka okumala ebbanga eggere nga olikozesa mu ngeri gye mukkiriziganyizzaako ne Nnannyini lyo. Liizi ku ttaka ng’esussa emyaka etaano efunirwako ekyapa ekya liizi. Eyeeyazise (oba afunye liizi ku ttaka) abaako ky’asasula nnannyini ttaka aba amuwadde liizi nga bwe baba bakkiriziganyizza.
LWAKI OW’EKIBANJA YANDIFUNYE Liizi?
- Omuntu afunye liizi okuva ku nnannyini ttaka omutuufu obusenze bwe buba bunyweevu era tasobola kumala gasengulwa kuva ku ttaka kuba afuna ekyapa obutafaanana ow’ekibanja obubanja.
- Nnannyini ttaka naye tasobola kumala gagoba wa liizi kuva ku ttaka kuba wabaawo endagaano ya liizi efuga enkolagana wakati wa nnannyini ttaka n’oyo abeera aweereddwa liizi.
- Omuntu afunye liizi ekibanja kye kiputimbwa ne kisimbibwako obuyinja ku nsalo zaakyo era ne kifuna nnamba ya ppulooti. Ebikwata ku ttaka eryo biterekebwa mu kitongole kya Gavumenti ekiyitibwa Lands and Surveys Department, Entebbe. Bwe wabeerawo enkaayana ku nsalo, kiba kyangu okuzitaawulula.
- Alina liizi, ettaka asobola okulikozesa ng’omusingo mu Bbanka bw’aba ayagala okwewola ssente okukola bizinensi oba omulimu gwayagala.
- Alina liizi bwaba ayagala okutunda liizi ye kimwanguyira kuba gw’aguza ayanguyirwa okukakasa nti ye nnannyiniyo omutuufu. Ebikwata ku ttaka eriweereddwako liizi biterekebwa mu Land Registry ne mu Buganda Land Board.
- Olw’okuba nga liizi ebaako ekyapa ekikakasa obwannannyini, liizi ebeera ya muwendo nnyo okusinga ekibanja ne bwe kiba ng’enkulaakulana eri ku ttaka eririko liizi ne ku kibanja byenkana. Awo nno, kale atunda bwaba asazeewo okutunda, afuna kinene okusinga atunda ekibanja.
- Mu mateeka olina okuba n’ekyapa, ppulaani y’ennyumba gy’oyagala okuzimba okukakasibwa. Owa liizi aba n’ekyapa kyokka ow’ekibanja taba nakyo. Buganda Land Board egenda kutandika okugaana abatalina ppulaani za bizimbe n’ennyumba zikakasiddwa okuzimba ebizimbe eby’obuwangaazi. Alina ekibanja akubirizibwa alabe ng’afuna liizi aleme kukosebwa.
- Bwe wabaawo ensonga ng’abali ku ttaka balina okusengulwa okuva ku ttaka, oyo alina liizi asasulwa kinene okusinga ow’ekibanja ne bwekiba nti enkulaakulana ze balina ku ttaka z’enkanankana.
|
|
Last Updated ( 2009-10-16 ) |
|
|