|
October, 2009
Abe Nansana banywezezza obusenze ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka
Omwezi gwa Ssebo aseka mu mwaka guno 2009, BLB yatandise kawefube okukubiriza abatuuze abalina ebibanja ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka okutongoza obusenze nga batandika n’okuwandiisa ebibanja mu nkola etandikira ku kuggulawo failo mu Buganda Land Board.
Kawefube ono ajjumbiddwa ennyo mu bitundu eby’e Nansana nemiriraano asaasanidde n’ebitundu ebiral a mu masaza Kyadondo, Kyagge ne Busiro era abatuuze enkola eno bajanirizza.
Ekizimbe kya Muganzirwazza
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatema evvunike okuzimba ekizimbe galikwoleka wano mu kibuga kyabaddugavu e Katwe, abamu ku batunulizi baalowooza nti gwali mulimu munene nnyo ddala oguyinza n’okuzitowerera obwa Kabaka. Oba olyawo tebaali bakyamu okulowooza batyo ggwe ate Buganda etasolooza misolo yandisobodde etya? Wabula ggwe aludde okuyitako mu kifo kino awaalinga ekibangirizi Jubilee park abasawo b’ekinnansi webaagabiranga eddagala, bwoyitawo kati obula anti wewayimiridde ekizimbe ekyo Beene kyeyatemera evvunike luno jjo lyabalamu ekyabbulwamu Namasole Muganzirwazza. G
oloofa eno esubirwa okujjibwako engalo mu mwaka 2010, yakuwemmenta buwumbi era ng’omulimu guno gwonna guvujjiriddwa ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka eky’ettaka, Buganda Land Board.
Payement
For Payment of Ground Rent dues or any other dues you owe Buganda Land Board, please here below are the details;
- Bankers: Stanbic Bank Uganda Corporate Branch
- Account Name: Buganda Land Board
- Account Number: 0140061082801
- Swift Code: SBICUGKX
Okukuuma Ettaka lya Kabaka nga kuliko emiti Egyebibala
Buganda Land Board etandise kawefube ow'okutwala enkulakulana mu bantu abalina
ebibanja ku ttaka lya Ssabasajja Kabaka mu bitundu bye Nansana.
Mu nteekateeka eno, abamaze okuwandiisa ebibanja bafunye emiti egyebibala nga emiyembe,
emicungwa, Ova cado n'ebirala nga byambala ebirina okusimbibwa abatuuze bano
mudda befunire ku nsimbi ssaako n'okulyako.
Okutandikawo entegeka eno, Buganda Land Board yamaze kutunulira migaso abantu ba Kabaka gyebanafuna naddala ensimbi ezinaava mu kutunda ebibala bino kakati ebifuuse ebyettunzi ssonga n'abaana
abatakyafuna bibala bibamala okukuuma obulamu bwabwe kakati batuuse okulya
basindise bigere.
BLB e Lugogo
Buganda Land Board yetaaba mu Uganda Manufacturers Association's Exhibition in Lugogo mu October 2009
Abasaba Lease
Mu lutuula lwa Board olwaliwo nga 08/07/2010, Lease Offers 85 zayisibwa era ne Lease ezali ziweddeko 23 nezizibwa bujja oluvanyuuma lwa banyinizzo okusaba nti Lease ezo zongerweyo.
Abatekaamu okusaba kwabwe musabibwa okunona amabaluwa gamwe nga 12/07/2010 mu office za Buganda Land Board e Bulange Mengo
EKIZIMBE KYA MUGANZIRWAZZA
|